Proverbs 28

1 aAbakozi b’ebibi badduka nga tewali abagoba,
naye abatuukirivu babeera n’obuvumu ng’empologoma.

2Eggwanga bwe lijeema, liba n’abafuzi bangi,
naye olw’omuntu alina okutegeera n’okumanya obutebenkevu budda nate mu nsi.

3Omufuzi anyigiriza abaavu,
afaanana nga enkuba etonnya ezikiriza n’eterekaawo birime.

4Abo abava ku mateeka ga Mukama batendereza aboonoonyi,
naye abo abagakuuma babawakanya.

5Abantu abakozi b’ebibi tebategeera bwenkanya,
naye abo abanoonya Mukama babutegeerera ddala bulungi.

6 bOmuntu omwavu atambulira mu butuukirivu,
asinga omugagga ow’amakubo amakyamu.

7 cOyo akuuma amateeka ga Mukama mwana eyeegendereza,
naye mukwano gw’ab’omululu akwasa kitaawe ensonyi.

8 dAyongera ku bugagga bwe mu bukumpanya,
abukuŋŋaanyiza omulala anaayinza okuba ow’ekisa eri abaavu.

9 eAtassaayo mwoyo kuwulira mateeka ga Mukama,
n’okusaba kwe tekukkirizibwa.

10 fBuli akyamya abatuukirivu mu kkubo ebbi,
aligwa mu katego ke ye,
naye abatuukirivu balisikira ebirungi.

11Omugagga alowooza nti mugezi,
naye omwavu alina okutegeera, amunyooma.

12 gAbatuukirivu bwe bawangula wabaawo okujaguza okw’amaanyi,
naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuna obuyinza abantu beekweka.

13 hOyo akweka ebibi bye, talifuna mukisa kukulaakulana,
naye buli abyatula n’abireka, alisaasirwa.

14Alina omukisa omuntu atya Mukama ebbanga lyonna,
naye oyo akakanyaza omutima gwe abonaabona.

15Ng’empologoma ewuluguma oba eddubu eritiisatiisa,
bw’abeera omufuzi omubi atulugunya abateesobola.

16Omufuzi nantagambwako tafuga na bwenkanya,
naye oyo akyawa amagoba agafuniddwa mu bukyamu alibeera n’essanyu ery’obulamu obuwangaazi.

17 iOmuntu alumirizibwa olw’okutta munne,
alibeera mu kutegana okutuusa okufa,
tewabanga n’omu amuyamba.

18 jOmuntu atambulira mu bugolokofu alinunulibwa talibeerako kabi,
naye oyo ow’amakubo amabi aligwa mbagirawo.

19 kOmuntu alima ennimiro ye aliba n’emmere nnyingi,
naye oyo ali mu birowoozo ebitaliimu alifa bwavu.

20 lOmusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi,
naye oyo ayanguyiriza okugaggawala talirema kubonerezebwa.

21 mOkuttira abantu ku liiso ng’osala emisango si kirungi,
naye ate olw’okunoonya akookulya omuntu ayinza okuzza omusango.

22 nOmusajja omukodo yeegomba okugaggawala,
naye nga tamanyi nti obwavu bumulindiridde.

23 oOyo anenya omuntu, oluvannyuma aliganja,
okusinga oyo awaaniriza n’olulimi.

24 pBuli anyaga kitaawe, oba nnyina,
n’agamba nti, “Si nsonga,” afaanana n’oyo azikiriza.

25 qOmuntu ow’omululu aleeta oluyombo,
naye oyo eyeesiga Mukama aligaggawazibwa.

26 rEyeesiga omutima gwe, musirusiru,
naye oyo atambulira mu magezi alifuna emirembe.

27 sAgabira abaavu talibaako ne kye yeetaaga,
naye abakodowalira anaabanga n’ebikolimo bingi.

28 tAbakozi b’ebibi bwe babeera mu buyinza, abantu beekweka,
naye abakozi b’ebibi bwe bazikirira, abatuukirivu bakulaakulana.
Copyright information for LugEEEE